
53
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekimakalasi. Masukiri ya Dawudi.
153:1 Zab 10:453:1-6 Zab 14:1-7Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti Tewali Katonda.
Bavunze, bakoze obubi obw’omuzizo;
Tewali akola bulungi.
253:2 2 Byom 19:3, Zab 102:19Katonda yatunula ku baana b’abantu ng’ayima mu ggulu,
Alabe nga waliwo abategeera,
Abanoonya Katonda.
353:3 Bar 3:10-12Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu;
Tewali akola bulungi, tewali n’omu.
453:4 Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3Abakola obubi tebalina magezi?
Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere,
Ne batakaabira Katonda.
553:5 Leev 26:36, Zab 141:7, Nge 28:1Awatali kya kutya we batiira ennyo:
Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g’oyo akukolako olusiisira;
Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba.
653:6 Zab 85:1, Ez 39:25, Kos 6:11, Yo 3:1Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni!
Katonda bw’alikomyawo abantu be abaanyagibwa,
Yakobo n’alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.