
51
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi: Nasani nnabbi bwe yajja gy’ali, bwe yali ng’amaze okuyingira eri Basuseba.
151:1 Zab 106:45, Is 44:22, Bik 3:19Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo;
Mu bungi obw’okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
251:2 Yer 4:14, Bik 22:16, Beb 9:14, 1 Yok 1:7Onnaalize ddala mu bubi bwange,
Onnongoose mu kwonoona kwange.
351:3 Zab 32:5Kubanga njatula ebyonoono byange;
N’ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.
451:4 Lub 39:9, 2 Sam 12:13, Luk 15:18,21, Bar 3:4Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona.
Ne nkola ekibi mu maaso go:
Obeere omutuukirivu bw’oyogera,
Osinge omusango bw’osala.
551:5 Yob 15:14, Bar 5:12,19Laba, nze natondebwa mu bubi;
Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
651:6 Yob 38:36Laba, ggwe oyagala eby’omunda eby’amazima;
Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
751:7 Leev 14:4,6,7, Zab 51:2, Is 1:18Ontukuze n’ezoobu, nange naaba mulungi:
Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
8Ompulize essanyu n’okwesiima;
Amagumba ge wamenya gasanyuke.
951:9 Yer 16:17, 1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26Okise amaaso go mu bibi byange,
Osangule ebyonoono byange byonna.
1051:10 1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda;
Onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.
1151:11 Lub 4:14, 2 Bassek 13:23, Yer 7:15Tongoba w’oli;
So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
1251:12 Bar 8:15, 2 Kol 3:17Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo:
Onnyweze n’omwoyo ogw’eddembe.
1351:13 Luk 22:32Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi;
N’abalina ebibi balikyukira gy’oli.
1451:14 2 Sam 11:17; 12:19, Zab 24:5; 71:15Omponye mu musango gw’omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
Olulimi lwange luliyimba nnyo obutuukirivu bwo.
15Ai Mukama, yasamya emimwa gyange;
N’akamwa kange kalyolesa ettendo lyo.
1651:16 Zab 40:6Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde;
Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
1751:17 Zab 34:18Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese:
Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
18Okole bulungi Sayuuni, nga bw’oyagala:
Okolere Yerusaalemi bbugwe.
1951:19 Ma 33:10, Zab 4:5, Mal 3:3, 2 Byom 19:3, Zab 102:19N’olyoka osanyukira ssaddaaka ez’obutuukirivu, eby’okwokya n’eby’okwokya ebiramba:
Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.