
50
Zabbuli ya Asafu.
150:1 Zab 113:3Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde,
N’ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba.
Katonda amasamasizza.
250:2 Ma 33:2, Zab 48:2; 80:1Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde,
Katonda amasamasizza.
350:3 Kuv 19:16, Zab 21:9Katonda waffe alijja, so talisirika;
Omuliro gulirya mu maaso ge,
Omuyaga omungi gulimwetooloola.
450:4 Ma 32:1, Is 1:2, Mi 6:1,2Alikoowoola eggulu waggulu,
N’ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
550:5 Lub 15:9-18, Kuv 24:7,8Mukuŋŋaanye abatukuvu bange awamu we ndi;
Abaalagaana nange endagaano n’essaddaaka.
650:6 Zab 75:7; 97:6N’eggulu liribuulira obutuukirivu bwe;
Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini.
750:7 Kuv 20:2, Zab 81:8Muwulire, abantu bange, nange naayogera;
Ggwe isiraeri, nange naakutegeeza;
Nze Katonda, Katonda wo.
850:8 Zab 40:6Siikunenye lwa ssaddaaka zo;
N’ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9Siriggya seddume mu nnyumba yo.
Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
N’ente ez’oku nsozi lukumi.
1150:11 Mat 10:29Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi:
N’ensolo ez’omu nsiko zange.
1250:12 Zab 24:1Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde:
Kubanga ensi yange, n’okujjula kwayo.
13Nze naalyanga ennyama eya seddume,
Oba naanywanga omusaayi gw’embuzi?
1450:14 Kubal 30:2, Zab 22:25; 107:22, Mub 5:4, Kos 14:2, Yon 2:9, Beb 13:15Owenga Katonda ssaddaaka ey’okwebaza;
Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
1550:15 Zab 22:23; 81:7; 107:6, Zek 13:9Era onkoowoolenga ku lunaku olw’okulaba ennaku;
Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze.
16Naye omubi Katonda amugamba nti
Ofaayo ki okubuulira amateeka gange,
N’oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
1750:17 Nek 9:26, Bar 2:21,22Kubanga okyawa okuyigirizibwa,
N’ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
1850:18 Bar 1:32, 1 Tim 5:22Bwe walaba omubbi walagaana naye,
Era wassa ekimu n’abenzi.
1950:19 Zab 52:2Owaayo akamwa ko eri obubi,
N’olulimi lwo lukola eby’obulimba.
20Otuula ng’ovuma muganda wo;
Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
2150:21 Mub 8:11, Is 57:11, Bar 2:4Ebyo wabikola, nange ne nsirika;
N’olowooza nga nenkanankanira
ddala naawe:
Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
2250:22 Zab 7:2; 9:17Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda,
Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
2350:23 Zab 50:14,15; 91:16Buli ampa ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza;
Naye alongoosa obulungi ekkubo lye
Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.