
5
Ya mukulu w’abayimbi; ya bintu ebifuuyibwa. Zabbuli ya Dawudi.
1Wulira ebigambo byange, ai Mukama,
Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
25:2 Zab 84:3Wulira eddoboozi ly’okukaaba kwange,
Kabaka wange, era Katonda wange:
Kubanga nkusaba ggwe.
35:3 Zab 88:13; 119:147Ai Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange;
Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy’oli, ne ntunula.
4Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi:
Ebitasaana tebiituulenga gy’oli.
55:5 Zab 1:5; 11:5; 73:4, Kaab 1:13Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go:
Okyawa bonna abakola ebitali bituukirivu.
65:6 Zab 55:23, Kub 22:15Olizikiriza aboogera eby’obulimba:
Mukama akyawa omuntu atta n’alimbalimba.
75:7 1 Bassek 8:30Naye ku lwange mu bungi bw’ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo:
Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu.
85:8 Zab 23:3; 27:11Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw’abalabe bange;
Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.
95:9 Zab 12:2, Bar 3:13Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe:
Omwoyo gwabwe bubi busa:
Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde;
Beegonza n’olulimi lwabwe.
105:10 2 Sam 15:31Obasseeko omusango, ai Katonda;
Bagwe olw’okuteesa kwabwe bo:
Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi;
Kubanga bakujeemedde ggwe.
115:11 1 Sam 2:1, Zab 2:12; 33:21Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga,
Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma:
Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
125:12 Zab 115:13Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa;
Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng’engabo.