
49
Ya mukulu w’abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
149:1 Is 1:2, Mi 1:2Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna;
Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:
2Abakopi era n’abakulu,
Abagagga n’abaavu awamu.
3Akamwa kange kanaayogera amagezi;
N’omutima gwange gunaalowooza eby’okumanya.
449:4 Zab 78:2Okutu kwange naakutegera olugero:
Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n’ennanga.
5Lwaki nze okutya mu nnaku ez’akabi,
Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?
649:6 Zab 52:7, Nge 11:28, Mak 10:24Abeesiga obugagga bwabwe,
Ne beenyumiriza olw’ebintu byabwe ebingi;
749:7 Mat 16:26Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n’akatono,
Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:
849:8 Yob 36:18,19(Kubanga ekinunulo eky’emmeeme yaabwe kizibu,
Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)
949:9 Zab 16:10; 89:48Alyoke awangaalenga ennaku zonna,
Alemenga okulaba okuvunda,
1049:10 Zab 39:6, Mub 2:16Kubanga alaba ng’ab’amagezi bafa,
Atamanyi n’omusirusiru bazikirira wamu,
N’obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
1149:11 Lub 4:17Balowooza munda ng’ennyumba zaabwe za nnaku zonna,
Ebifo byabwe bya mirembe gyonna;
Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
1249:12 Zab 82:7, Mub 3:19Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa:
Ali ng’ensolo ezizikirira.
1349:13 Zab 75:7; 97:6Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe:
Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)
1449:14 Yob 24:19, Dan 7:22, Mal 4:3, 1 Kol 6:2, Kub 2:26Bateekerwawo magombe ng’ekisibo;
Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe:
Ab’amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya;
N’obulungi bwabwe buliba obw’emagombe, okubulya, buleme okubeera n’ekifo eky’okutuulamu.
1549:15 Zab 16:10, Kos 13:14Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag’emagombe;
Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)
16Totyanga ggwe omuntu bw’agaggawala,
Ekitiibwa eky’ennyumba ye bwe kyeyongera:
1749:17 Yob 27:19, 1 Tim 6:7Kubanga bw’alifa talitwala kintu:
Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:
1849:18 Ma 29:19, Luk 12:19Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey’omukisa bwe yali ng’akyali mulamu,
Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,
19Alikka mu mirembe gya bajjajja be;
Tebaliraba musana nate.
20Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera,
Ali ng’ensolo ezizikirira.