
48
Oluyimba; zabbuli ya batabani ba Koola.
148:1 Zab 46:4; 96:4; 145:3, Is 2:2, Zek 8:3Mukama mukulu,
agwanira okutenderezebwa ennyo,
Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
248:2 Zab 50:2, Kung 2:15, Mat 5:35Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo,
Lye ssanyu ery’ensi yonna, ku njuyi ez’obukiika obwa kkono,
Ekibuga kya kabaka omukulu.
348:3 Zab 46:7Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro.
448:4-6 2 Sam 10:6-19Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana,
Ne bayitamu wamu.
5Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya;
Ne batya, ne baanguwa okugenda.
648:6 Kuv 15:15, Is 13:8Ensisi n’ebakwatira omwo;
N’okulumwa, ng’omukazi azaala.
7Omuyaga oguva ebuvanjuba
Ogumenyesa amaato ag’e Talusiisi.
848:8 Zab 48:1; 87:5Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo
Mu kibuga kya Mukama w’eggye, mu kibuga kya Katonda waffe:
Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)
9Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda,
Wakati mu yeekaalu yo.
1048:10 Ma 28:58, Zab 113:3, Mal 1:11Ng’erinnya lyo bwe liri, ai Katonda,
Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y’ensi:
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
1148:11 Zab 97:8Olusozi Sayuuni lusanyuke,
Abawala ba Yuda bajaguze,
Olw’emisango gyo.
12Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye:
Mubale ebigo byakyo.
1348:13 Zab 78:4-6; 122:7Mwekalirize enkomera zaakyo.
Mulowooze amayumba gaakyo;
Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
1448:14 Zab 23:3,4Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n’emirembe:
Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.