
47
Ya mukulu w’abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
147:1 1 Sam 10:24, 2 Bassek 11:12, Is 55:12Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna;
Mwogerere waggulu eri Katonda
n’eddoboozi ery’okuwangula.
247:2 Ma 7:21, Nek 1:5, Mal 1:14, 1 Bassek 10:22; 22:48, Ez 27:26Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa:
Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna.
347:3 Zab 18:47Alijeemula abantu ne tubafuga,
N’amawanga aligassa wansi w’ebigere byaffe.
447:4 Am 8:7, Nak 2:2, 1 Peet 1:4Alitulondera obusika bwaffe,
Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera)
547:5 2 Sam 6:15, Zab 68:18Katonda alinnye n’okwogerera waggulu,
Mukama alinnye n’eddoboozi ery’akagombe.
6Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza;
Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza.
747:7 Zek 14:9, 1 Kol 14:15Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi zonna:
Muyimbe okumutendereza n’amagezi.
847:8 1 Byom 16:31, Zab 22:28Katonda afuga amawanga:
Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.
947:9 Zab 72:11; 89:18, Is 49:7,23Abalangira ab’amawanga bakuŋŋaanye.
Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu:
Kubanga engabo ez’ensi za Katonda;
Agulumizibwa nnyo.