
46
Ya mukulu w’abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola; ey’ekyalamoosi. Oluyimba.
146:1 Ma 4:7, Zab 14:6Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe,
Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.
246:2 Zab 18:7Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneekyukanga,
N’ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw’ennyanja;
346:3 Zab 93:3,4, Yer 5:22Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga,
N’ensozi ne bwe zinaakankananga n’okwetabula kwayo. (Seera)
446:4 Zab 36:8; 43:3; 48:1, Is 33:21; 60:14, Kub 22:1,2Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
Ekifo ekitukuvu eky’eweema z’oyo ali waggulu ennyo.
546:5 Ma 23:14, Is 12:6, Ez 43:7, Zek 8:3Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga:
Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
646:6 Zab 2:1; 18:13, Yo 3:16, Am 9:5Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula:
Yaleeta eddoboozi lye, ensi n’esaanuuka.
746:7 Zab 48:3Mukama w’eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
846:8 Zab 66:5Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama,
Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.
946:9 1 Sam 2:4, Zab 76:3, Is 2:4, Mi 4:3Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi;
Amenya omutego, n’effumu alikutula;
N’amagaali agookya omuliro.
1046:10 Kuv 14:13, Is 2:11,17Musirike mumanye nga nze Katonda:
Naagulumizibwanga mu mawanga,
Naagulumizibwanga mu nsi.
1146:11 Zab 46:7Mukama w’eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)