
44
Ya mukulu w’abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola. Masukiri.
144:1 Kuv 10:2; 13:8,14, Zab 77:5; 78:3Twawuliranga n’amatu gaffe, ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga,
Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez’edda.
244:2 Kuv 15:17, Yos 3:10, Zab 80:8Amawanga wagagobamu n’omukono gwo, n’obasigamu bo;
Wabonyaabonya amawanga, n’ogasaasaanyiza ddala.
344:3 Ma 10:15, Yos 24:12, Kos 1:7Kubanga tebaalya nsi olw’ekitala kyabwe,
Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola:
Wabula omukono gwo ogwa ddyo n’engalo zo, n’omusana ogw’amaaso go,
Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
444:4 Zab 74:12Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda:
Lagira obulokozi eri Yakobo.
544:5 Zab 60:12, Dan 8:4Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi:
Olw’erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
644:6 1 Sam 17:47, Zab 33:16Kubanga ssiryesiga mutego gwange,
So ekitala kyange si kye kirindokola.
7Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe,
Era wabaswaza abatukyawa.
844:8 Zab 34:2Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba,
Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
944:9 2 Sam 5:24, Zab 60:1,10; 74:1; 108:11Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi;
So totabaala n’eggye lyaffe.
1044:10 Leev 26:17, Yos 7:8,12Otuzza nnyuma eri abalabe:
N’abo abatukyawa beenyagira.
1144:11 Ma 4:27; 28:64, 2 Bassek 17:6, Zab 106:27, Ez 20:23, Luk 21:24Watuwaayo ng’endiga okuba ennyama;
Watusaasaanya mu mawanga.
1244:12 Balam 2:14; 3:8, Is 52:3Abantu bo obatundira bwereere,
So n’omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
1344:13 Zab 79:4; 80:6Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe,
Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
1444:14 Yer 24:9Otufuula olugero mu mawanga,
Okunyeenyezebwa kw’omutwe mu bantu.
15Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde,
N’ensonyi ez’amaaso gange zinsaanikidde,
1644:16 Zab 8:2Olw’eddoboozi ly’oyo aboggola, avuma;
Olw’omulabe n’olw’oyo awalana eggwanga.
1744:17 Dan 9:13Ebyo byonna bitutuuseeko; naye
tetukwerabidde,
So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
1844:18 Zab 119:157Omutima gwaffe teguzze nnyuma,
So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky’ebibe,
N’otusaanikiza ekisiikirize eky’okufa.
20Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe,
Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
2144:21 1 Sam 16:7, Zab 139:1, Yok 2:25, Bar 2:16, Beb 4:13Ekyo Katonda talikikenneenya?
Kubanga ebyama eby’omu mutima abimanyi.
2244:22 Bar 8:36Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe;
Tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
2344:23 Zab 7:6; 44:9Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama?
Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
2444:24 Yob 13:24Kiki ekikukwesezza amaaso go,
N’ebibonoobono byaffe n’okujoogebwa n’obyerabira?
2544:25 Zab 119:25Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu:
Olubuto lwaffe lwegasse n’ettaka.
2644:26 Zab 25:22Golokoka okutuyamba,
Otununule olw’ekisa kyo.