
43
143:1 1 Sam 24:15, Zab 5:6; 7:8Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda:
Ondokole eri omuntu ow’obulimba atali mutuukirivu.
243:2 Zab 31:4; 42:9; 44:9Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala?
Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw’okujooga kw’omulabe?
343:3 Zab 2:6; 57:3; 84:1Kale otume omusana gwo n’amazima go; ebyo binnuŋŋamye:
Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda,
Eri Katonda essanyu lyange eritasingika;
Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange.
543:5 Zab 42:5Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange?
Kiki ekikweraliikiriza munda yange?
Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza,
Bwe bulamu obw’amaaso gange, era Katonda wange.