
41
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
141:1 Nge 14:21, Mak 10:21Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu:
Mukama alimulokola ku lunaku olw’akabi.
241:2 Zab 27:12Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi;
So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
3Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda:
Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw’alwala.
441:4 Zab 6:2; 147:3Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire:
Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.
5Abalabe bange banjogerako obubi nti
Alifa ddi, erinnya lye ne libula?
641:6 Zab 12:2; 144:8Era ne bw’ajja okundaba, ayogera ebitaliimu;
Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu:
Bw’ava mu nnyumba, abubuulira.
7Bonna abankyawa bangeyera wamu:
Bateesa ebigambo okunkola akabi.
8Boogera nti Endwadde embi emukutte:
Kaakano bw’agalamidde, tagenda kugolokoka nate.
941:9 2 Sam 15:12, Zab 55:12,13, Yer 20:10, Ob 7, Mak 14:18, Yok 13:18Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange,
Ansitulidde ekisinziiro kye.
10Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose,
Ndyoke mbawalanire eggwanga.
1141:11 2 Sam 15:25,26Kyenvudde mmanya ng’onsanyukira,
Kubanga omulabe wange tampangula.
1241:12 Yob 36:7, Zab 63:8Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange,
Era onteeka mu maaso go ennaku zonna.
1341:13 Zab 72:18; 106:48, Luk 1:68Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa isiraeri,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n’emirembe.
Amiina, era Amiina.