
40
1Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
40:1 Zab 37:7; 39:12Nalindirira Mukama n’okugumiikiriza;
N’antegera okutu, n’ampulira okukaaba kwange.
240:2 Zab 27:5; 69:2,14Era n’anziya mu bunnya obw’okuzikirira, mu bitositosi;
N’ateeka ebigere byange ku lwazi, n’anyweza okugenda kwange.
340:3 Zab 33:3; 52:6Era n’oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe:
Bangi abanaalabanga, ne batya,
Ne beesiga Mukama.
440:4 Zab 2:12; 125:5Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama,
N’atabassaamu ekitiibwa ab’amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
540:5 Yob 5:9, Zab 139:17,18Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi,
N’ebirowoozo byo ebiri gye tuli:
Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu;
Singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako,
Tebibalika obungi.
640:6 1 Sam 15:22, Zab 51:16, Kos 6:6, Mat 9:1340:6-8 Beb 10:5-7Ssaddaaka n’ebiweebwayo tobisanyukira;
Amatu gange ogawulizza:
Ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala.
740:7 Luk 24:44Ne ndyoka njogera nti Laba, nzize;
Mu muzingo ogw’ekitabo ekyampandiikwako:
840:8 Yob 23:12, Zab 119:35, Yer 15:16, Yok 4:34, Bar 7:22Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange;
Weewaawo, amateeka go gali
mu mutima gwange munda.
940:9,10 Yos 22:22, Zab 22:22,25, Bik 20:20,27, Bar 1:16,17Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene;
Laba, ssiibunizenga mimwa gyange,
Ai Mukama, ggwe omanyi.
10Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda;
Mbuulidde obwesige bwo n’obulokozi bwo:
Ekisa kyo n’amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
1140:11 Zab 57:3; 61:7Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi:
Ekisa kyo n’amazima go binkuumenga ennaku zonna.
1240:12 Zab 38:4,10; 116:3Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde,
Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n’okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu;
Businga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.
1340:13-17 Zab 70:1-540:13 Zab 38:22Kkiriza, ai Mukama, okumponya:
Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.
1440:14 Zab 6:10; 35:4Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu.
Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza:
Bazzibwe ennyuma banyoomebwe
Abo abasanyukira nze okulaba akabi.
1540:15 Zab 35:21,25Balekebwe olw’ensonyi zaabwe
Abo abansooza.
1640:16 Zab 35:27Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze:
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti
Mukama agulumizibwe.
1740:17 Zab 86:1, 1 Peet 5:7Naye nze ndi mwavu, neetaaga;
Mukama andowooza:
Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange;
Tolwawo, ai Katonda wange.