
4
Ya mukulu w’abayimbi; ya bintu eby’engoye. Zabbuli ya Dawudi.
14:1 Yer 23:6Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow’obutuukirivu bwange;
Wansumulula bwe nnali mu nnaku:
Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okukyusa ekitiibwa kyange mu nsonyi?
Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n’okugoberera eby’obulimba? (Seera)
34:3 Kuv 33:16Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda:
Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
44:4 Zab 77:6, Bef 4:26Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona:
Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire.
54:5 Ma 33:19, Zab 37:3; 51:19Muweeyo esaddaaka ez’obutuukirivu,
Era mwesige Mukama.
64:6 Kubal 6:26, Zab 89:15Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi?
Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw’amaaso go ku ffe.
74:7 Is 9:3Otadde essanyu mu mutima gwange,
Okusinga ery’omu kyengera ky’emmere n’omwenge gwabwe.
84:8 Leev 25:18,19, Zab 3:5Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka:
Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.