
39
Ya mukulu w’abayimbi, ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
139:1 1 Bassek 2:4, Yob 2:10, Zab 34:13Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange,
Nnemenga okwonoonya olulimi lwange:
Naasibanga akamwa kange n’olukoba,
Omubi ng’ali mu maaso gange.
239:2 Yob 40:4,5Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera;
Okunakuwala kwange ne kweyongera.
339:3 Yer 20:9, Luk 24:32Omutima gwange ne gwaka munda yange;
Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera:
Ne ndyoka njogera n’olulimi lwange:
439:4 Zab 90:12Mukama, ontegeeze enkomerero yange,
N’ekigera eky’ennaku zange bwe kiri;
Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
539:5 Yob 14:1,2, Zab 62:9; 89:47Laba, ennaku zange wazikola ng’enta;
N’obulamu bwange buli nga si kintu gy’oli:
Mazima, buli muntu, bw’anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)
639:6 Yob 27:16,17, Mub 2:18,21, Luk 12:20, 1 Kol 7:31, Yak 4:14Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu.
Mazima, beeraliikiririra bwereere:
Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
739:7 Zab 38:15Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki?
Mu ggwe mwe nnina essuubi.
839:8 Zab 44:13Onziye mu byonoono byange byonna;
Tonfuula kivume kya basirusiru.
939:9 2 Sam 16:10, Yob 2:10, Zab 38:13Nasiruwala, saayasamya kamwa kange;
Kubanga wakikola.
10Onzigyeko omuggo gwo:
Mmaliddwamu amaanyi olw’okukuba kw’omukono gwo.
1139:11 Yob 13:28, Zab 39:5; 49:14Bw’obuuliriranga omuntu n’okunenya olw’obutali butuukirivu,
Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng’ennyenje:
Mazima, buli muntu mukka. (Seera)
1239:12 Leev 25:23, 1 Byom 29:15, Zab 102:1, Beb 11:13Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange;
Tosirikira maziga gange:
Kubanga nze ndi mugenyi gy’oli,
Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.
1339:13 Yob 10:20,21; 14:10-12Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi,
Nga sinnava muno ne ssibeerawo.