
38
Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
138:1 Zab 6:1Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo:
So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
238:2 6:4, Zab 32:4Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala,
N’omukono gwo gunnyigirizza nnyo.
338:3 Zab 31:10, Is 1:6Temuli bulamu mu mubiri gwange olw’okunyiiga kwo;
So temuli kuwona mu magumba gange olw’okwonoona kwange.
438:4 Ezer 9:6Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange.
Ng’omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.
5Ebiwundu byange biwunya era bivunze,
Olw’obusirusiru bwange.
638:6 Zab 35:14, Is 21:3Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo;
Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.
738:7 Zab 38:3Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya;
So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8Nnyongobera, mmenyesemenyese:
Mpulugumye olw’okweraliikirira kw’omutima gwange.
9Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go;
N’okusinda kwange tekukukisibwa.
1038:10 Zab 6:7Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu:
Omusana ogw’amaaso gange, era nagwo gumbuze.
1138:11 Zab 88:10, Mak 15:40, Luk 10:31,32Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange;
Ne baganda bange bayimirira wala.
1238:12 2 Sam 16:7,8; 17:1,3, Zab 35:20, Mak 12:13Era n’abo abanjigganya obulamu bwange banteega;
N’abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby’ettima,
Era balowooza eby’obulimba obudde okuziba.
1338:13 Zab 39:2,9, Is 53:7, 1 Peet 2:23Naye nze, ng’omuzibe w’amatu, ssiwulira;
Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.
14Mazima, nninga omuntu atawulira,
Ne mu kamwa ke temuli kunenya.
1538:15 2 Sam 16:12, Zab 39:7Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira:
Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.
1638:16 Zab 13:4Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako:
Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.
1738:17 Yer 20:10Kubanga nze ndi kumpi n’okuwenyera,
N’ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.
1838:18 Zab 32:5, 2 Kol 7:9,10Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange;
Naanakuwalanga olw’okwonoona kwange.
19Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi:
N’abo abankyawa olw’obulimba beeyongedde.
2038:20 Zab 35:12; 109:4Era n’abo abasasula obubi olw’obulungi
Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.
2138:21 Zab 22:11Tondeka, ai Mukama:
Ai Katonda wange, tombeera wala.
2238:22 Kuv 15:2, Zab 40:13, Is 12:2Yanguwa okunnyamba,
Ai Mukama, obulokozi bwange.