
36
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama.
136:1 Bar 3:18Ekyonoono ky’omubi kyogerera mu mutima gwange nti
Tewali kutya Katonda mu maaso ge.
236:2 Ma 29:19Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye,
Ng’obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa.
336:3 Zab 12:2Ebigambo eby’akamwa ke bwe butali butuukirivu n’obulimba:
Alese okuba n’amagezi n’okukola obulungi.
436:4 Is 65:2, Mi 2:1Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye;
Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi;
Takyawa bubi.
536:5 Zab 57:10; 89:2Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu;
Obwesige bwo bubuna ebbanga.
636:6 Yob 11:8, Zab 71:19; 92:5; 104:14,15, Bar 11:33Obutuukirivu bwo buli ng’ensozi za Katonda;
Emisango gyo bwe buziba obunene:
Ai Mukama, ggwe owonya abantu n’ebisolo.
736:7 Zab 17:8; 31:19Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi!
Era abaana b’abantu baddukira wansi w’ekisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo.
836:8 Zab 16:11; 46:4; 65:4, Is 25:6, Kub 22:1Banakkusibwanga ddala obugevvu obw’ennyumba yo.
Era onoobanywesanga ku mugga ogw’essanyu lyo.
936:9 Yer 2:13, Yok 1:9; 4:10,14, Bik 26:18, 1 Peet 2:9, Kub 21:6Kubanga w’oli we wali oluzzi olw’obulamu:
Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
1036:10 Yer 22:16Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya;
N’obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw’amazima.
11Toganya kigere kya malala okunjijirako,
Newakubadde omukono gw’omubi okungoba.
1236:12 Zab 1:5Eri gye bagudde abakola obutali
butuukirivu;
Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka.