
34
Zabbuli ya Dawudi; bwe yawaanyisa empisa ze mu maaso ga Abimereki, eyamugoba, n’agenda.
1Neebazanga Mukama mu biro byonna:
Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.
234:2 Zab 44:8, Yer 9:24, 1 Kol 1:31Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama:
Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
334:3 Zab 69:30, Luk 1:46Mumukuze Mukama wamu nange,
Tugulumize erinnya lye fenna.
434:4 Zab 18:6, Mat 7:7Nanoonya Mukama, n’anziramu,
N’andokola mu kutya kwange kwonna.
5Baamutunuulira, ne balaba omusana:
Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna.
634:6 2 Sam 22:1Omunaku ono yakoowoola, Mukama n’amuwulira,
N’amulokola mu nnaku ze zonna.
734:7 Lub 32:1,2, 2 Bassek 6:17, Dan 6:22, Beb 1:14Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N’abalokola.
834:8 Zab 2:12, Beb 6:5, 1 Peet 2:3Mulege mutegeere Mukama nga mulungi:
Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.
934:9 Baf 4:19Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be:
Kubanga tebabulwa kintu abamutya,
1034:10 Yob 4:10,11, Zab 84:11Obwana bw’empologoma bubulwa ne bulumwa enjala:
Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
1134:11 Zab 66:16Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire:
Naabayigirizanga okutya Mukama.
1234:12-16 1 Peet 3:10-12Muntu ki ayagala obulamu,
Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?
1334:13 Zab 15:3; 141:3, Yak 1:26, 1 Peet 2:1,22, Kub 14:5Ziyizanga olulimi lwo mu bubi,
N’emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.
1434:14 Zab 37:27, Bar 12:18; 14:19, 3 Yok 11Va mu bubi, okolenga obulungi;
Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
1534:15 Zab 33:18, Yok 9:31Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu,
N’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
1634:16 Zab 33:18, Yok 9:31Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi,
Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.
17Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n’awulira,
N’abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
1834:18 Zab 51:17, Is 61:1; 66:2Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese.
Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
1934:19 Zab 34:6, Bik 12:11, 1 Tim 3:11,12Ebibonoobono eby’omutuukirivu bye bingi:
Naye Mukama amulokola mu byonna.
2034:20 Kuv 12:46, Yok 19:36Akuuma amagumba ge gonna:
Linnaago erimu terimenyeka.
2134:21 Zab 7:15,16; 94:23Obubi bulitta omubi:
N’abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
2234:22 Zab 25:22; 103:4, Bar 8:33,34Mukama anunula emmeeme y’abaddu be:
So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.