
31
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
131:1 Zab 11:1; 31:1731:1-3 71:1-3Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna:
Ondokole mu butuukirivu bwo.
231:2 Zab 71:2; 86:1; 91:2Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola:
Obeerenga gye ndi olwazi olw’amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
331:3 Zab 18:2; 23:3, Yer 14:7Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange;
Kale ku lw’erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
431:4 25:15; 43:2Onziye mu kyambika kye banteze enkiso;
Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
531:5 Ma 32:4, Luk 23:46, Bik 7:59, 1 Peet 4:19Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo:
Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow’amazima.
631:6 Yer 14:22, Yon 2:8Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby’obulimba ebitaliimu:
Naye neesiga Mukama.
7Naasanyukanga, naajaguzanga okw’okusaasira kwo:
Kubanga walaba ebibonoobono byange;
Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
831:8 Zab 18:19So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw’omulabe;
Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
931:9 Zab 6:7Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze:
Eriiso lyange liweddemu olw’okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n’omubiri gwange.
1031:10 Zab 6:2; 38:3Kubanga obulamu bwange buyita n’okutegana, n’emyaka gyange giyita n’okusinda.
Amaanyi gange gampweddemu olw’okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.
1131:11 Yob 19:13,14, Zab 88:8Ku lw’abalabe bange bonna nfuuse ekivume,
Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange:
Abandaba mu kkubo ne banziruka.
1231:12 Zab 88:5, Mub 9:5Nneerabiddwa ng’omufu atalowoozebwa:
Nfaanana ng’ekibya ekyatise.
1331:13 2 Sam 17:1-4, Yer 20:10, Mat 27:1Kubanga nawulira okuwaayiriza kw’abangi,
Ensisi yanneetooloola:
Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze,
Ne basala amagezi okunziyako
obulamu bwange.
1431:14 Zab 31:1,6Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama:
Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
1531:15 Zab 7:1Entuuko zange ziri mu mukono gwo:
Ondokole mu mukono gw’abalabe bange n’abo abanjigganya.
1631:16 Kubal 6:25, Zab 119:135, Dan 9:17Amaaso go gaakire omuddu wo:
Ondokole mu kisa kyo.
1731:17 1 Sam 2:9, Zab 25:2; 31:1; 115:17Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe:
Ababi bakwatibwenga ensonyi, basirikenga mu magombe.
1831:18 Zab 12:3; 17:10Emimwa egy’obulimba gisiruwalenga;
Egyogera ku batuukirivu n’ekyejo,
N’amalala n’okunyooma.
1931:19 Is 64:4Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya,
Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g’abaana b’abantu!
2031:20 Yob 5:21, Zab 27:5; 32:7Gy’oli awakwekebwa w’onoobakisanga enkwe z’abantu:
Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
2131:21 1 Sam 23:7, Zab 17:7Atenderezebwenga Mukama:
Kubanga andaze ekisa kye eky’ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
2231:22 2 Sam 15:4, Is 38:11,12, Yon 2:4Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go:
Naye wawulira eddoboozi ery’okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
2331:23 Ma 32:41, Zab 30:4Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be:
Mukama awonya abeesigwa,
Era asasulira ddala mu bungi akola eby’amalala.
2431:24 Zab 27:14Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe,
Mwenna abasuubira mu Mukama.