
30
Zabbuli; oluyimba Ennyumba bwe yatukuzibwa; Zabbuli ya Dawudi.
130:1 Zab 25:2; 35:19,24Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza,
N’otobampanguza abalabe bange.
230:2 Zab 6:2; 88:13Ai Mukama Katonda wange,
Naakukoowoola, naawe n’omponya.
330:3 Zab 16:10; 28:1Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe:
Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
430:4 Zab 50:5; 97:12Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be,
N’erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
530:5 Zab 103:9, Is 54:7,8Kubanga obusungu bwe buyita mangu;
Mu kisa kye mwe muli obulamu:
Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro,
Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
630:6 Zab 10:6, Nge 1:32Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti
Sirisagaasagana emirembe gyonna.
730:7 2 Sam 24:10, Zab 104:29Ggwe, Mukama, mu kisa kyo
wali onywezezza olusozi lwange:
N’okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
830:8 Zab 142:1Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama;
Era Mukama ne mmwegayirira;
930:9 Zab 6:5Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya?
Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
1030:10 Zab 27:7Wulira, ai Mukama, onsaasire:
Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
1130:11 2 Sam 6:14, Yer 31:13Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina;
Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
1230:12 Zab 16:9Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika.
Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.