
3
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Abusaalomu mutabani we.
13:1 2 Sam 15:12 Mukama, abalabe bange nga beeyongedde!
Abagolokoka okunnumba bangi.
23:2 Zab 71:11Bangi aboogera ku mmeeme yange,
Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
33:3 Lub 15:1, Zab 27:6; 28:7; 119:114Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma;
Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
43:4 Zab 2:6N’eddoboozi lyange nkoowoola Mukama,
Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
53:5 Zab 4:8, Nge 3:24Naagalamira ne nneebaka;
Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
63:6 Zab 27:3, Zab 84:3Siritya bukumi bwa bantu,
Abanneetooloola okunnumba.
73:7 Zab 10:12; 58:6Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange:
Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama;
Wamenya amannyo g’ababi.
83:8 Zab 37:39, Nge 21:31, Yer 3:23, Yon 2:9Obulokozi buli eri Mukama:
Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)