
29
Zabbuli ya Dawudi.
129:1 Zab 89:629:1,2 Zab 96:7-9Mumuwe Mukama, mmwe abaana b’abazira,
Mumuwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi.
2Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira;
Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma.
329:3 Yob 37:4,5, Zab 18:11,13Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi:
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
Ye Mukama, ku mazzi amangi.
429:4 Zab 68:33Eddoboozi lya Mukama lya maanyi;
Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
629:6 Ma 3:9, Zab 114:4,6Era agizinyisa ng’ennyana;
Lebanooni ne Siriyoni ng’ennyana y’embogo,
7Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez’omuliro.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
929:9 Yob 39:1-3Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo,
Era likunkumulira ddala amabira,
Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.
1029:10 Lub 6:17, Zab 10:16Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba;
Weewaawo, Mukama atuula nga
kabaka emirembe gyonna.
1129:11 Zab 68:35, Is 40:29Mukama aliwa amaanyi abantu be;
Mukama omukisa gw’aliwa abantu be gye mirembe.