
28
Zabbuli ya Dawudi.
128:1 Zab 18:2; 31:3; 35:22; 143:7Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga;
Olwazi lwange, togaana kumpulira:
Nneme okuba ng’abo abakka mu bunnya,
Oba nga ononsiriikirira.
228:2 1 Bassek 8:29, Zab 5:7; 134:2; 140:6Wulira eddoboozi ery’okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira,
Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky’oyogereramu.
328:3 Zab 26:9, Yer 9:8Tompalulira wamu n’ababi,
N’abo abakola obutali butuukirivu;
Aboogera eby’emirembe ne bannaabwe,
Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
428:4 Yer 50:15,29, 2 Tim 4:14, Kub 18:6; 22:12Obawe ng’emirimu gyabwe bwe giri era ng’obubi obw’ebikolwa byabwe:
Obawe ng’emikono gyabwe bwe gikola;
Obasasule bye basaanidde.
528:5 Is 5:12, Yob 39:1-3Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama,
Newakubadde emikono gye bye gikola,
Alibamenyaamenya so talibazimba.
6Atenderezebwe Mukama,
Kubanga awulidde eddoboozi ery’okwegayirira kwange.
728:7 Zab 3:3; 69:30Mukama ge maanyi gange era
ye ngabo yange;
Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa:
Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo;
Era naamutenderezanga n’oluyimba lwange.
828:8 Zab 20:6; 140:7Mukama ge maanyi gaabwe,
Era kye kiddukiro eky’obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
928:9 Ma 9:29, 1 Bassek 8:51, Zab 78:71,72, Is 63:9Lokola abantu bo, owenga omukisa ab’obusika bwo:
Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.