
27
Zabbuli ya Dawudi.
127:1 Kuv 15:2, Zab 23:4, Is 12:2; 60:20, Mi 7:8, Beb 13:6Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
gwe nnaatyanga ye ani?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
anankankanyanga ye ani?
2Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange,
Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa.
327:3 Zab 3:6Newakubadde ng’eggye lisiisidde okunnwanyisa,
Omutima gwange teguutyenga:
Newakubadde ng’entalo zimbaddeko,
Era ne mu ezo naagumanga omwoyo.
427:4 Zab 23:6; 26:8; 84:1,2; 90:17, Luk 2:37Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga;
Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange,
Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n’okubuuzanga mu yeekaalu ye.
527:5 Zab 31:20; 40:2, Is 4:6Kubanga ku lunaku olw’okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye:
Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza;
Alinnyimusa ku lwazi.
627:6 Zab 3:3, Bef 5:19Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde;
Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez’okusanyuka;
Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama.
727:7 30:10Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n’eddoboozi lyange:
Era onsaasire, onziremu.
827:8 Zab 24:6Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti
Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga.
927:9 Zab 24:5; 69:17; 102:2Tonkisa amaaso go;
Togoba muddu wo mu busungu:
Ggwe wabeeranga omubeezi wange;
Tonsuula, so tondeka ai Katonda ow’obulokozi bwange.
1027:10 Is 49:15, Yok 16:32, 2 Tim 4:16,17Kubanga kitange ne mmange bandese,
Naye Mukama ananjijanjabanga.
1127:11 Zab 5:8; 25:4Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama;
Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika,
Olw’abalabe bange.
1227:12 Zab 35:11; 41:2, Mat 26:59,60, Mak 14:55,56Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala:
Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n’abo abassa omukka ogw’obukambwe.
1327:13 Kuv 33:19, Zab 142:5, Is 38:11Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama Mu nsi ey’abalamu.
1427:14 Yos 1:6, Zab 31:24; 37:34, Is 25:9Lindirira Mukama:
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo;
Weewaawo, lindirira Mukama.