
26
Zabbuli ya Dawudi.
126:1 Zab 7:8; 11:1Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange:
Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
226:2 Zab 7:9; 17:3Onkebere, ai Mukama, onkeme;
Ongezeeko emmeeme yange n’omutima gwange.
326:3 2 Bassek 20:3, Zab 25:10Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange;
Era natambuliranga mu mazima go.
4Saatuulanga wamu na bantu abataliimu;
So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
526:5 Zab 139:21,22Ekibiina ky’abo abakola obubi nkikyawa,
So siituulenga wamu na babi.
626:6 Kuv 30:19,20, Zab 73:13Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona;
Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
726:7 Zab 9:1Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery’okwebaza,
Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby’ekitalo.
826:8 Zab 27:4Mukama, njagala ekisulo eky’omu nnyumba yo,
N’ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu.
926:9 Zab 28:3Tonoga mmeeme yange wamu
n’abalina ebibi,
Newakubadde obulamu bwange wamu n’abantu ab’omu nsi:
1026:10 Ma 16:19Emikono gyabwe girimu ettima,
N’omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
1126:11 Zab 5:8; 25:4Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange:
Onnunule, era onsaasire.
1226:12 22:25Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu:
Mu bibiina neebazanga Mukama.