
25
Zabbuli ya Dawudi.
125:1 Zab 143:8, Kung 3:41Gy’oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
225:2 Zab 25:20; 31:1; 71:1Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe,
Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi;
Abalabe bange tobaganya kumpangula.
325:3 Is 49:23, Yer 3:20, Bar 10:11Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi:
Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez’obwereere.
425:4 Kuv 33:13, Zab 27:11Ondage amakubo go, ai Mukama;
Onjigirize empenda zo.
525:5 Zab 86:11Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize;
Kubanga ggwe oli Katonda ow’obulokozi bwange;
Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
625:6 Lub 9:15; 19:29, Zab 51:1Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n’ekisa kyo;
Kubanga byaliwo edda n’edda lyonna.
725:7 Yob 13:26, Yer 3:25Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange:
Onjijukire ng’ekisa kyo bwe kiri,
Olw’obulungi bwo, ai Mukama.
825:8 Zab 32:8; 100:5Mukama ye mulungi era wa mazima:
Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga
mu musango:
Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
10Amakubo gonna aga Mukama
kye kisa n’amazima
Eri abo abeekuuma endagaano ye n’okutegeeza kwe.
1125:11 Zab 31:3; 79:9, Bar 5:20Olw’erinnya lyo, ai Mukama,
Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
1225:12 Zab 32:8Omuntu atya Mukama aluwa?
Oyo gw’anaayigirizanga mu kkubo ly’anaasiimanga.
1325:13 Zab 37:9; 112:2, Nge 1:33Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe;
N’ezzadde lye linaasikiranga ensi.
1425:14 Yob 29:4, Am 3:7Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya;
Era anaabalaganga endagaano ye.
1525:15 Zab 31:4; 123:1,2Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna;
Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
1625:16 Zab 86:16Onkyukire, onsaasire;
Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
17Ennaku ez’omutima gwange zeeyongedde:
Kale onziye mu bibonoobono byange.
18Lowooza ennaku zange n’okutegana kwange;
Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19Lowooza abalabe bange, kubanga bangi;
Era bankyawa obukyayi obukambwe.
2025:20 Zab 25:2Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga:
Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
21Obutuukirivu n’amazima binkuumenga,
Kubanga nnindirira ggwe.
2225:22 2 Sam 4:9, Zab 34:22; 130:8Nunula Isiraeri, ai Katonda,
Mu bibonoobono bye byonna.