
24
Zabbuli ya Dawudi.
124:1 Kuv 9:29, Yob 41:11, Zab 50:12; 89:11, 1 Kol 10:26Ensi ya Mukama, n’okujjula kwayo;
Ensi zonna, n’abo abazituulamu.
224:2 Zab 136:6, Nge 8:29Kubanga yagisimba ku nnyanja,
Yaginyweza ku mazzi amangi.
324:3-5 Zab 15:1-5Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama?
Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
424:4 Yob 22:30, Zab 73:1; 119:37, Mat 5:8Oyo alina emikono emirungi, n’omutima omulongoofu;
Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu,
So teyalayiriranga bwereere.
524:5 Lub 22:17,18, Zab 27:9; 51:14; 88:1, Is 46:13Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa,
Era n’obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow’obulokozi bwe.
624:6 Zab 105:4Egyo gye mirembe gy’abo abamunoonya,
Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
724:7,9 Zab 118:19,20, 1 Kol 2:8Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi;
Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo:
Ne kabaka ow’ekitiibwa anaayingira.
824:8 Kuv 15:3Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Mukama ow’amaanyi ow’obuyinza,
Mukama ow’obuyinza mu kulwana.
9Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi;
Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo:
Ne Kabaka ow’ekitiibwa anaayingira.
1024:10 Mal 1:14Kabaka oyo ow’ekitiibwa ye ani?
Mukama ow’eggye,
Oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa. (Seera)