
21
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
121:1 Zab 28:7,8Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama;
N’obulokozi bwo ng’anaabujagulizanga nnyo!
221:2 88:1Omuwadde omutima gwe kye gwagala,
So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)
321:3 Leev 19:2, Zab 80:1; 147:12Kubanga omusisinkanye n’eby’omukisa eby’obulungi:
Omuteekako ku mutwe gwe engule ey’ezaabu ennungi.
4Yakusaba obulamu, n’obumuwa;
Era n’ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
521:5 Zab 96:6Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo:
Ekitiibwa n’obukulu obimussaako.
621:6 Zab 16:11Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna:
Omusanyusa essanyu mu maaso go.
721:7 Zab 16:8; 91:2Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
N’olw’ekisa ky’oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
8Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna:
Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
921:9 Zab 50:3, Is 26:11, Mal 4:1Olibafaananya ng’ekikoomi ekyaka mu biro eby’obusungu bwo.
Mukama alibamira mu kiruyi kye,
N’omuliro gulibalya.
1021:10 1 Bassek 13:34, Zab 37:28, Is 14:20Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi,
N’ezzadde lyabwe mu baana b’abantu.
11Kubanga baakuteeseza obubi:
Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola.
1221:12 Zab 11:2; 18:40Kubanga olibazza ennyuma,
Oliteekateeka engoye zo
ez’omutego ku maaso gaabwe.
13Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go:
Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo.