
20
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
120:1 Lub 35:3, Zab 59:1Mukama akuddemu ku lunaku
olw’okunakuwala;
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likugulumizenga waggulu;
2Akuweerezenga okubeerwa mu
kifo ekitukuvu,
Akuwenga amaanyi agava mu Sayuuni;
320:3 Bik 10:4Ajjukirenga bye wawaayo byonna,
Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; (Seera)
420:4 Zab 21:2Akuweenga omutima gwo kye gwagala,
Atuukirizenga okuteesa kwo kwonna.
520:5 1 Sam 17:45, Zab 60:4,7,8, Bar 7:12Tunaawangulanga mu bulokozi bwo,
Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe:
Mukama atuukirizenga by’osaba byonna.
620:6 Zab 28:8Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta;
Alimuddamu ng’ayima mu ggulu lye ettukuvu
N’obulokozi obuwonya obw’omukono gwe ogwa ddyo.
720:7 2 Byom 32:8, Nge 21:31, Is 31:1Abalala beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi:
Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8Bakutamye bo ne bagwa:
Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira.
9Lokola, Mukama:
Kabaka atuddemu bwe tukoowoola.