
2
12:1 Zab 46:62:1,2 Bik 4:25,26Kiki ekibagugumusizza ab’amawanga,
N’abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?
22:2 Zab 18:50; 45:7Bakabaka ab’ensi beeteeseteese,
N’abafuga bateesezza ebigambo wamu,
Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti
32:3 Yer 5:5Ka tumenyemenye enjegere zaabwe,
Tusuule wala emigwa gyabwe.
42:4 Zab 11:4; 37:13, Nge 1:26Atuula mu ggulu aliseka,
Mukama alibaduulira.
5Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,
Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:
62:6 Zab 3:4; 15:1; 43:3Naye naateeka kabaka wange
Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
72:7 Bik 13:33, Beb 1:5; 5:5Ekiragiro ndikibuulira:
Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange;
Leero nkuzadde.
82:8 Zab 72:8, Dan 7:14Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo,
N’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go.
92:9 Is 30:14, Kub 2:27Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;
Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.
10Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka:
Muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.
112:11 Beb 12:28Muweereze Mukama n’okutya,
Era musanyuke n’okukankana.
122:12 Zab 34:8; 84:12, Yer 17:7Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo,
Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu.
Balina omukisa bonna abamweyuna ye.