
19
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
119:1-6 Bar 1:20Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda:
N’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.
2Omusana gugamba ebigambo omusana,
N’ekiro kiraga amagezi ekiro.
3Siwali bigambo newakubadde olulimi;
Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
419:4 Bar 10:18Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna,
N’ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y’ensi.
Abiteekeddemu enjuba eweema,
519:5 Balam 5:31, Bik 10:4Eri ng’awasa omugole ng’ava mu nju ye,
Era esanyuka ng’ow’amaanyi
okuyita mu lugendo lwayo.
619:6 Mub 1:5, Zab 21:2Evaayo ku nkomerero y’eggulu,
Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo:
So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
719:7 Mat 11:25, 2 Tim 3:15Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme:
Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.
819:8 Zab 12:6; 13:3Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima:
Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.
919:9 Zab 119:142,151Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna:
Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala.
1019:10 Zab 119:103,127Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n’ezaabu ennyingi ennungi:
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki n’ebisenge byagwo.
11Era ebyo bye birabula omuddu wo:
Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.
1219:12 Yob 34:32, Zab 90:8, 1 Kol 4:4Ani ayinza okukebera ebyonoono bye?
Onnongoose mu bibi ebikisibwa.
1319:13 Kubal 15:30, 1 Sam 25:33,34,39, Zab 119:133, Bar 6:12,14Era ne mu by’amalala oziyize omuddu wo;
Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira,
So omusango ogw’okwonoona okunene tegulinsinga.
1419:14 Yob 19:25Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go,
Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.