
18
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama, eyagamba Mukama ebigambo eby’oluyimba luno ku lunaku Mukama lwe yamuwonyezaako mu mukono gw’abalabe be bonna, ne mu mukono gwa Sawulo: n’ayogera nti.
1Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange.
218:2 Lub 15:1, Ma 32:4, 1 Sam 2:2, Zab 9:9; 18:30,31; 31:3; 91:2, Luk 1:69, Beb 2:1318:2-50 2 Sam 22:2-51Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola;
Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga;
Engabo yange, n’ejjembe ery’obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
318:3 Zab 48:1; 96:4Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa:
Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
418:4 Zab 32:6; 116:3Emigwa egy’okufa gyansiba,
N’ebitaba eby’obutatya Katonda byantiisa.
5Emigwa egy’emagombe gyanneetooloola:
Emitego egy’olumbe gyankwasa.
618:6 Zab 11:4; 120:1, Yon 2:2Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama,
Ne mpita Katonda wange:
N’awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye,
Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
718:7 Zab 77:18, Bik 4:31; 16:26Ensi n’eryoka ekankana n’esagaasagana,
Era n’emisingi gy’ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa,
Kubanga asunguwadde.
818:8 Zab 21:9Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze,
N’omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya:
Ne gukoleeza amanda.
918:9 Kuv 20:21, Zab 144:5, Is 64:1Era n’eggulu n’alikutamya, n’akka;
N’ekizikiza ekinene ne kiba wansi w’ebigere bye.
1018:10 Zab 104:3Ne yeebagala kerubi n’abuuka:
Era n’abuuka mangu ku biwaawaatiro eby’empewo.
1118:11 Yob 36:29, Zab 97:2Ekizikiza n’akifuula eky’okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde;
Ekizikiza eky’amazzi, ebire ebikutte eby’omu ggulu.
12Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita,
Ne waba amayinja ag’omuzira n’amanda ag’omuliro.
1318:13 1 Sam 2:10; 7:10, Yob 37:4, Zab 29:3-9, Is 30:30Era Mukama n’abwatuka mu ggulu,
N’oyo ali waggulu ennyo n’aleeta eddoboozi lye;
Ne waba amayinja ag’omuzira n’amanda ag’omuliro.
1418:14 Zab 77:17; 144:6, Kaab 3:11N’alasa obusaale bwe n’abasaasaanya;
N’alasa enjota nnyingi n’abeeraliikiriza.
1518:15 Kuv 15:8, Nak 1:4Ensalosalo ez’amazzi ne ziryoka zirabika,
Emisingi gy’ensi ne gyeruka,
Mu kunenya kwo, ai Mukama,
Mu kibuyaga ow’omukka ogw’ennyindo zo.
1618:16 Zab 144:7Yatuma okuva waggulu, n’antwala;
N’ampalula mu mazzi amangi.
17Yamponya eri mulabe wange ow’amaanyi,
N’eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze.
18Banjijira ku lunaku olw’akabi kange:
Naye Mukama ye yannyweza.
1918:19 Zab 18:36; 22:8; 31:8; 118:5Era n’anfulumya mu kifo ekigazi;
Yamponya, kubanga yansanyukira.
2018:20 Luus 2:12, 1 Sam 24:19, 1 Bassek 8:32Mukama yampa empeera ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
Ng’emikono gyange bwe giri emirungi, bw’ansasudde.
2118:21 Lub 18:19Kubanga nakwata amakubo ga Mukama,
Ne ssireka Katonda wange n’obubi.
22Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange,
So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi.
2318:23 Lub 17:1, 1 Bassek 14:8Era nali eyatuukirira gy’ali.
Ne nneekuuma mu bubi bwange.
24Mukama kyavudde ansasula, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge.
2518:25 Mat 5:7; 18:33Eri ow’ekisa oneeraga ow’ekisa;
Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
2618:26 Leev 26:23,24, Nge 3:34, Bar 1:28Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu;
N’eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
2718:27 Kuv 3:7, Nge 6:17, Luk 1:51Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa;
Naye amaaso ag’amalala onoogatoowazanga.
2818:28 1 Bassek 11:36, Zab 132:17Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange.
Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
29Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina;
Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.
3018:30 Ma 32:4, Zab 12:6; 18:2, Mat 5:48Katonda, ekkubo lye lyatuukirira:
Ekigambo kya Mukama kyakettebwa;
Oyo ye ngabo y’abo bonna abamwesiga.
3118:31 Ma 32:31, Zab 86:8Kubanga ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
3218:32 1 Sam 2:4, Zab 101:2,6Katonda ansibya amaanyi,
Era atuukiriza ekkubo lyange.
3318:33 Is 58:14, Kaab 3:19Afuula ebigere byange ng’eby’empeewo:
Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu.
3418:34 Zab 144:1Anjigiriza engalo zange okulwana;
Emikono gyange ne gireega omutego ogw’ekikomo.
3518:35 Is 63:9Era ompadde engabo ey’obulokozi bwo:
N’omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde,
N’obuwombeefu bwo bungulumizizza.
3618:36 Zab 18:36 Zab 18:19, Nge 4:12Ongaziyirizza ekkubo ery’ebigere byange,
N’ebisinziiro byange tebiseereranga.
37Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako:
So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa.
38Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka:
Baligwa wansi w’ebigere byange.
39Kubanga onsibye amaanyi ag’okulwana:
Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako.
4018:40 Kuv 23:27, Zab 21:12Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi,
Ndyoke nzikirize abankyawa.
4118:41 Yob 27:9, Nge 1:28Baakoowoola, naye tewaali mulokozi:
Baakoowoola Mukama, naye n’atabaddamu.
42Ne ndyoka mbasekulasekula ng’enfuufu etwalibwa empewo:
Ne mbasuula ng’ebitosi eby’omu nguudo.
4318:43 2 Sam 3:1; 8:1-14; 19:9,43, Zab 2:8, Is 55:5Omponyezza mu kuyomba kw’abantu;
Onfudde omutwe gw’amawanga;
Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera:
Bannaggwanga balinjeemulukukira.
4518:45 Mi 7:17Bannaggwanga baliggwaawo,
Baliva mu bifo byabwe eby’okwekwekamu nga bakankana.
46Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe;
Era agulumizibwe Katonda ow’obulokozi bwange:
4718:47 Zab 47:3Ye Katonda ampalanira eggwanga,
Era awangula amawanga ngafuge.
4818:48 Zab 59:1Amponya eri abalabe bange:
Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako:
Ondokola eri omuntu ow’ekyejo.
4918:49 Bar 15:9Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga,
Naayimbanga okutendereza erinnya lyo.
5018:50 2 Sam 7:12,13, Zab 2:2; 89:29; 144:10Obulokozi bukulu bw’awa kabaka we;
Era amukolera eby’ekisa oyo gwe yasiiga amafuta,
Dawudi n’ezzadde lye, emirembe n’emirembe.