
17
Okusaba kwa Dawudi.
117:1 Zab 61:1; 142:6Wulira ensonga ey’obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange;
Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy’obukuusa.
2Omusango gwange guve w’oli;
Amaaso go gatunuulire obutuukirivu.
317:3 Yob 23:10, Zek 13:9, 1 Peet 1:7Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro;
Wankema, n’otolaba kigambo;
Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga.
4Mu bikolwa by’abantu, olw’ekigambo eky’emimwa gyo
Neekuumanga mu makubo ag’abantu abalina ekyejo.
517:5 Yob 23:11Olugendo lwange lwanywera mu makubo go,
Ebigere byange tebiseereranga.
617:6 Zab 116:1,2Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda:
Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera.
7Laga ekisa kyo eky’ekitalo, ggwe alokola abakwesiga,
Mu abo ababagolokokerako, n’omukono gwo ogwa ddyo.
817:8 Ma 32:10, Luus 2:12, Zab 36:7; 91:4, Mat 23:37Onkuume ng’emmunye ey’eriiso,
Onkise mu kisiikirize eky’ebiwawaatiro byo,
9Mu babi abannyaga,
Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza.
1017:10 Yob 15:27, Zab 73:7; 119:70, Is 6:10Babikkiddwa amasavu gaabwe:
N’akamwa kaabwe boogera eby’amalala.
1117:11 1 Sam 23:26Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe:
Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi.
1217:12 Zab 10:9Afaanana ng’empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo,
Era ng’omwana gw’empologoma ogw’ekisa we guteegera.
13Golokoka, ai Mukama,
Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi:
Omponye emmeeme yange eri omubi n’ekitala kyo;
1417:14 Yob 21:8,11, Zab 10:18, Mat 6:2,5,16, Luk 16:8,25Eri abantu n’omukono gwo, ai Mukama,
Eri abantu ab’ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno,
N’olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo:
Banyiye abaana,
N’ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe.
1517:15 Yob 19:26,27, Zab 11:7, 1 Yok 3:2Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu:
Ndimatira bwe ndizuukuka n’ekifaananyi kyo.