
16
Mikutamu ya Dawudi.
116:1 Zab 25:20Onkuume, ai Katonda:
kubanga nkwesiga ggwe.
216:2 Zab 73:25Ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange:
Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.
316:3 Ma 7:6, 1 Peet 2:9Abatukuvu abali mu nsi,
Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna.
416:4 Kuv 23:13, Yos 23:7Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala:
Esaddaaka zaabwe ez’okunywa ez’omusaayi ssiiziwengayo.
So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange.
516:5 Kubal 18:20, Zab 23:5; 119:57Mukama gwe mugabo ogw’obusika bwange n’ogw’ekikompe kyange:
Ggwe okuuma ebyange.
616:6 Zab 78:55Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi;
Mazima nnina obusika obulungi.
7Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo:
Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby’ekiro.
816:8 Zab 109:3116:8-11 Bik 2:25-28Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo.
Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.
9Omutima gwange kyeguva gusanyuka n’ekitiibwa kyange kijaguza:
Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
1016:10 Zab 49:9,15, Mak 1:24, Luk 1:35, Bik 13:35Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe;
So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda.
1116:11 Zab 21:6; 36:8, Mat 7:14Onondaganga ekkubo ery’obulamu:
Gy’oli waliwo essanyu erituukirira;
Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n’emirembe.