
15
Zabbuli ya Dawudi.
115:1 Zab 2:615:1-5 Zab 24:3-5Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani?
Anaabeeranga ku lusozi lwo
olutukuvu ye ani?
215:2 Zab 84:11; 106:3, Zek 8:16, Bef 4:25Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu,
Era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.
315:3 Kuv 23:1, Leev 19:16Atawaayiriza n’olulimi lwe,
So mukwano gwe tamukola bubi,
So takkiriza kibi ku muliraanwa we.
415:4 Yos 9:18-20, Balam 11:35, Es 3:2Amaaso ge ganyooma omubi;
Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Bw’alayira ne bw’afiirwa, takyuka.
515:5 Kuv 23:8, Ma 16:19; 23:19, Ez 18:8Atawolera bintu bye magoba.
So taweebwa mpeera ku atalina musango.
Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda