
149
1149:1 Zab 33:3; 89:5Mumutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya,
N’ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery’abatukuvu.
2149:2 Zab 103:20,21, Dan 7:10Isiraeri asanyukire oyo eyamukola:
Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe.
3149:3 Kuv 15:20, 2 Sam 6:14Batendereze erinnya lye nga bazina:
Bayimbe okumutendereza n’ekitaasa n’ennanga.
4149:4 Zab 35:27; 147:11Kubanga Mukama asanyukira abantu be:
Aliwonya abawombeefu n’obulokozi.
5149:5 Yob 35:10, Zab 63:6Abatukuvu bajagulize ekitiibwa:
Bayimbirenga olw’essanyu ku bitanda byabwe.
6149:6 Zab 66:17, Beb 4:12, Kub 1:16Ettendo eggulumivu lya Katonda libenga mu bulago bwabwe,
N’ekitala eky’obwogi obubiri mu ngalo zaabwe;
7Okuwalana eggwanga ku mawanga,
N’okubonyaabonya abantu;
8Okusiba bakabaka baabwe n’enjegere,
N’abakungu baabwe n’ebisiba eby’ebyuma;
9Okubatuukirizaako omusango ogwawandiikibwa:
Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo.
Mumutendereze Mukama.