
148
1148:1 Zab 69:34, Mat 21:9Mumutendereze Mukama:
Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu:
Mumutendereze mu bifo ebya waggulu.
2Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna:
Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna.
3148:3 Kuv 15:20, 2 Sam 6:14Mumutendereze, mmwe enjuba n’omwezi:
Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka.
4148:4 Lub 1:7, 1 Bassek 8:27, Zab 68:33Mumutendereze, mmwe eggulu ly’eggulu,
Nammwe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5148:5 Zab 33:6,9Bitendereze erinnya lya Mukama:
Kubanga yalagira, ne bitondebwa.
6148:6 Zab 119:90, Yer 31:35,36Era yabinyweza okutuusa emirembe n’emirembe:
Yateeka etteeka eritaridiba.
7148:7 Lub 1:21Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi,
Mmwe balukwata, n’ebifo byonna eby’obuziba:
8148:8 Zab 105:32; 107:25; 147:14-18Omuliro n’omuzira, serugi n’omukka:
Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye:
9148:9 Is 44:23; 55:12Ensozi n’obusozi bwonna;
Emiti egibala n’emivule gyonna:
10148:10 Lub 1:20,21,24,25Ensolo n’ente zonna;
Ebyewalula n’ennyonyi ezibuuka:
11148:11 Bik 17:26, Kub 7:9Bakabaka b’ensi n’amawanga gonna;
Abalangira n’abalamuzi bonna ab’ensi:
12Abavubuka n’abawala;
Abakadde n’abato:
13148:13 Zab 8:1; 113:4, Is 6:3Batendereze erinnya lya Mukama;
Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa:
Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.
14148:14 Ma 4:7; 10:21, Bef 2:17Era agulumizizza ejjembe ery’abantu be,
Ettendo ery’abatukuvu be bonna;
Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi.
Mumutendereze Mukama.