
147
1147:1 Zab 92:1Mumutendereze Mukama;
Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe;
Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.
2147:2 Ma 30:3, Zab 102:16, Is 11:12; 56:8Mukama azimbira ddala Yerusaalemi;
Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab’omu Isiraeri.
3147:3 Zab 34:18, Is 61:1Awonya abalina emitima egimenyese,
Era asiba ebiwundu byabwe.
4147:4 Lub 15:5, Is 40:26Abala emmunyeenye omuwendo gwazo;
Azituuma zonna amannya gaazo.
5147:5 Is 40:28, Nak 1:3Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi;
Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6147:6 Zab 146:8,9, Yer 17:5Mukama awanirira abawombeefu:
Asindika wansi ababi.
7147:7 1 Byom 15:16, Zab 95:1,2, Bef 5:19Mumuyimbire Mukama n’okwebaza;
Muyimbe n’ennanga okutendereza Katonda waffe;
8147:8 Yob 5:10, Zab 104:14Abikka ku ggulu n’ebire,
Ateekerateekera ensi enkuba,
Amereza omuddo ku nsozi.
9147:9 Yob 38:41, Zab 104:27,28, Mat 6:26Awa ensolo emmere yaazo,
Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10147:10 Zab 33:17Tasanyukira maanyi ga mbalaasi:
Teyeesiimira amagulu g’omuntu.
11147:11 Zab 33:17Mukama yeesiimira abo abamutya,
Abo abasuubira okusaasira kwe.
12Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi;
Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13Kubanga anywezezza ebisiba by’enzigi zo;
Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14147:14 Kuv 34:24, Zab 81:16, Is 60:17,18Aleeta emirembe mu nsalo zo;
Akujjuza obugimu obw’eŋŋaano.
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16147:16 Yob 37:6; 38:29Agabula omuzira ng’ebyoya by’endiga;
Amansira omusulo ogukutte empewo ng’evvu.
17147:17 Yob 37:9,10Aweereza amazzi ge agakutte ng’obukunkumuka:
Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18Atuma ekigambo kye, n’abisaanuusa:
Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19147:19 Ma 33:4, Mal 4:4, Bar 3:2Alaga Yakobo ekigambo kye,
Amateeka ge n’emisango gye eri Isiraeri.
20147:20 Ma 4:32-34Takolanga bw’atyo ggwanga lyonna:
N’emisango gye tebagimanyanga.
Mumutendereze Mukama.