
146
1146:1 Zab 63:4; 104:33Mumutendereze Mukama.
Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2146:2 Zab 63:4; 104:33Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama:
Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3146:3 Zab 60:11; 118:8,9, Yer 17:5Temwesiganga balangira
Newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna.
4146:4 Yob 34:14,15, Zab 104:29Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye;
Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5146:5 Zab 144:15, Yer 17:7Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we,
Asuubira Mukama Katonda we:
6146:6 Zab 115:15; 117:2, Kub 14:7Eyakola eggulu n’ensi, ennyanja, n’ebibirimu byonna;
Akwata amazima ennaku zonna:
7146:7 Zab 103:6; 107:9, Is 61:1Abatuukiririza omusango abajoogebwa;
Awa emmere abalumwa enjala;
Mukama asumulula abasibe;
8146:8 Zab 11:7; 145:14, Mat 9:30, Yok 9:7Mukama azibula amaaso g’abazibe;
Mukama ayimiriza abakutama;
Mukama ayagala abatuukirivu;
9146:9 Kuv 22:21,22, Ma 10:18, Zab 147:6Mukama akuuma bannaggwanga;
Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu;
Naye ekkubo ery’ababi alivuunikirira ddala.
10146:10 Zab 10:16Mukama anaafuganga ennaku zonna,
Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna.
Mumutendereze Mukama.