
145
Zabbuli ey’okutendereza; eya Dawudi.
1145:1,2 Zab 99:5; 146:2Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka;
Era neebazanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
2Buli lunaku naakwebazanga;
Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3145:3 Zab 48:1, Is 40:28Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo
N’obukulu bwe tebunoonyezeka.
4Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe,
Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby’amaanyi.
5Ku bukulu obw’ekitiibwa obw’ettendo lyo,
Ne ku mirimu gyo egy’ekitalo, kwe nnaalowoozanga.
6145:6 Zab 78:4Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby’entiisa nga bya maanyi;
Nange naategeezanga obukulu bwo.
7145:7 Is 63:7Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa,
Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
8145:8 Kuv 34:6, Zab 86:15Mukama wa kisa ajjudde okusaasira;
Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.
9145:9 Zab 100:5, Mat 5:45Mukama mulungi eri bonna;
N’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.
10145:10 Zab 19:1; 103:22Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama;
N’abatukuvu bo banaakweyanzanga.
11Banaayogeranga ku kitiibwa eky’obwakabaka bwo,
Banaanyumyanga ku buyinza bwo;
12145:12 Zab 105:1Okumanyisanga abaana b’abantu ebikolwa bye eby’amaanyi,
N’ekitiibwa eky’obukulu obw’obwakabaka bwe.
13145:13 Zab 10:16, Dan 4:34Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo,
N’okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.
14145:14 Zab 37:24; 146:8Mukama awanirira abagwa bonna,
Era ayimiriza abakutama bonna.
15145:15,16 Zab 104:27,28Amaaso g’ebintu byonna gakulindirira;
Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.
16Oyanjuluza engalo zo,
N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17145:17 Zab 116:5Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna,
Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.
18145:18 Ma 4:7, Zab 119:151, Yok 4:23,24, Yak 4:8Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira,
Bonna abamukaabira n’amazima.
19145:19 Zab 31:22, Nge 10:24, Yok 9:31, 1 Yok 5:14Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya;
Era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga.
20145:20 Zab 97:10Mukama akuuma abo bonna abamwagala;
Naye ababi bonna alibazikiriza.
21145:21 Zab 150:6Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama;
Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.