
144
Zabbuli ya Dawudi.
1144:1 Zab 18:31,34Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange,
Ayigiriza emikono gyange entalo, n’engalo zange okulwana.
2144:2 Zab 18:2,47Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange,
Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange;
Engabo yange, era oyo gwe nneesiga,
Ajeemulula abantu bange be ntwala.
3144:3 Zab 8:4Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya?
Oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4144:4 Zab 39:5; 102:11Omuntu aliŋŋanga omukka:
Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo.
5144:5 Zab 18:9; 104:32, Is 64:1Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke:
Okwate ku nsozi, zinaanyooka.
6144:6 Zab 18:14Okasuke enjota, obasaasaanye;
Olase obusaale bwo, obateganye.
7144:7 Zab 18:16; 69:14Ogolole omukono gwo ng’oyima waggulu;
Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga;
8144:8 Zab 12:2, Is 62:8Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu,
N’omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw’obulimba.
9144:9 Zab 33:2,3Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda:
N’ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.
10Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi:
Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga,
Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu,
N’omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw’obulimba.
12144:12 Zab 128:3Batabani baffe bwe baliba ng’emiti egikuze nga bakyali bavubuka;
N’abawala baffe ng’amayinja ag’omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;
13144:13,14 Leev 26:3-10Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby’engeri zonna;
N’endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n’obukumi ku ttale lyaffe;
14144:14 Is 24:11Ente zaffe bwe ziriba n’emigugu eminene;
Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma,
So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe;
15144:15 Ma 33:29, Zab 33:12; 146:5Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo:
Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.