
143
Zabbuli ya Dawudi.
1143:1 Zab 140:6, 1 Yok 1:9Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange.
Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
2143:2 Yob 14:3; 25:4, Zab 130:3, Mub 7:20, Bar 3:23, 1 Kol 4:4So tosalanga musango gwa muddu wo;
Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.
3143:3 Zab 88:3-6, Kung 3:6Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange;
Akubye obulamu bwange n’abusuula wansi:
Antuuzizza mu bifo eby’enzikiza ng’abo abaafa edda.
4143:4 Zab 77:3Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange;
Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.
5143:5 Zab 77:5,11,12Njijukira ennaku ez’edda; ndowooza ebikolwa byo byonna:
Nfumiitiriza omulimu ogw’engalo zo.
6143:6 Yob 11:13, Zab 42:2; 63:1Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe:
Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng’ensi ekooye. (Seera)
7143:7 Zab 27:9; 28:1; 69:17Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo:
Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng’abo abakkira mu bunnya.
8143:8 Zab 25:1,4; 90:14Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe:
Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
9143:9 Zab 59:1Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange:
Nziruka okujja w’oli okwekisa.
10143:10 Nek 9:20, Zab 23:3; 119:12, Is 26:10Onjigirize okukolanga by’oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange:
Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey’obutuukirivu.
11143:11 Zab 25:11; 71:20Onzuukize, ai Mukama, olw’erinnya lyo:
Mu butuukirivu bwo oggyemu
emmeeme yange mu nnaku.
12143:12 Zab 54:5; 116:16Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange,
Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange;
Kubanga ndi muddu wo.