
142
Masukiri ya Dawudi, bwe yali ali mu mpuku: okusaba.
1142:1 Zab 3:4; 30:8Nkaabira Mukama n’eddoboozi lyange;
N’eddoboozi lyange neegayirira Mukama.
2142:2 Is 26:16Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza;
Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza;
3142:3 Zab 77:3; 140:5Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange.
Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego.
4142:4 Zab 69:20Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi:
Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange.
5142:5 Zab 14:6; 27:13, Kung 3:24Nakukoowoola ggwe, ai Mukama;
Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange,
Omugabo gwange mu nsi ey’abalamu.
6142:6 Zab 17:1; 18:17; 79:8Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo:
Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi.
7142:7 Zab 13:6, Is 42:7Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo:
Abatuukirivu balinneetooloola;
Kubanga olinkolera eby’ekisa ekingi.