
141
Zabbuli ya Dawudi.
1141:1 Zab 70:5Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi:
Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira.
2141:2 Kuv 29:41, Luk 1:10, 1 Tim 2:8, Kub 5:8Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng’omugavu;
Okugololwa kw’emikono gyange kube nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3141:3 Zab 34:13Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange:
Okuumenga omulyango gw’emimwa gyange.
4141:4 Zab 119:36, Nge 23:6, Mat 6:13Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna.
Okugenderera ebikolwa eby’obubi
Awamu n’abo abakola ebitali bya butuukirivu:
So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
5141:5 Zab 109:4, Nge 9:8; 27:6, Mub 7:5Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa;
Era ambuulirirenga, ng’amafuta ku mutwe;
Omutwe gwange gulemenga okugagaana:
Kuba newakubadde mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.
6Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g’ejjinja;
Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.
7141:7 Zab 53:5Ng’omuntu bw’akabala ng’atema ettaka,
N’amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k’amagombe.
8141:8 Zab 11:1; 25:15Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama:
Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.
9141:9 Zab 140:5Onkuume eri omutego gwe bantegedde.
N’eri ebyambika by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10141:10 Es 7:10, Zab 7:15,16Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo,
Naye nze nga mpona.