
140
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1140:1 Zab 18:48Omponye, ai Mukama, eri omubi;
Onkuume eri omutemu:
2Abayiiya ettima mu mutima gwabwe;
Bakuŋŋaananga bulijjo okulwana.
3140:3 Zab 52:2; 58:4, Bar 3:13Basongodde olulimi lwabwe ng’omusota;
Obusagwa bw’essalambwa buli wansi w’emimwa gyabwe. (Seera)
4140:4 Zab 71:4Onkuume, ai Mukama, eri emikono gy’ababi;
Omponye eri omutemu:
Abateesezza okukyamya ebigere byange olw’amaanyi.
5140:5 Yob 18:8-10, Yer 18:22Ab’amalala bantegedde omutego n’emigwa;
Bayaze ekitimba mu kkubo:
Bantegedde ebyambika. (Seera)
6140:6 Zab 28:2Nagamba Mukama nti Ggwe oli Katonda wange:
Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, ai Mukama.
7140:7 Zab 28:8Ai Katonda Mukama, amaanyi ag’obulokozi bwange.
Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw’olutalo.
8140:8 Yob 5:12,13, Zab 35:25Tokkiriza, ai Mukama, omubi by’ayagala;
Toyamba lukwe lwe olubi; baleme okwegulumizanga. (Seera)
9140:9 Zab 7:16Omutwe gwabwe abanneetooloola,
Ettima ery’emimwa gyabwe bo libabikkengako.
10140:10 Zab 11:6Amanda agookya gabagweko:
Basuulibwe mu muliro;
Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate.
11Ayogera obubi taanywerenga mu nsi:
Obubi bunaayigganyanga omutemu okumusuula.
12140:12 1 Bassek 8:59, Zab 9:4Mmanyi nga Mukama aliwoza
omusango gw’abo ababonyaabonyezebwa,
N’ensonga ey’abanaku.
13140:13 Zab 11:7; 64:10Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo:
Ab’amazima balituula w’oli.