
14
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
114:1 Zab 10:414:1-3 Bar 3:10-1214:1-7 Zab 53:1-6Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda.
Bavunze, bakoze ebikolwa eby’obugwagwa;
Siwali akola obulungi.
214:2 2 Byom 19:3, Zab 102:19Mukama yatunuulira ng’ayima mu ggulu abaana b’abantu,
Okulaba nga waliwo abaategeera,
Abaanoonya Katonda.
3Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu;
Siwali akola obulungi, newakubadde n’omu.
414:4 Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi?
Abalya abantu bange nga bwe balya emmere,
So tebakoowoola Mukama.
5Eri baalina obuti bungi:
Kubanga Katonda ali mu mirembe gy’abatuukirivu.
614:6 Zab 46:1; 61:3; 91:2; 142:5Mukwasa ensonyi okuteesa kw’omwavu,
Kubanga Mukama kye kiddukiro kye.
714:7 Zab 85:1; 126:1, Kos 6:11, Yo 3:1Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni!
Mukama bw’alizzaayo obusibe obw’abantu be,
Yakobo n’alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.