
139
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1139:1 Zab 17:3; 44:21, Yer 12:3Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2139:2 2 Bassek 19:27, Kung 3:63, Mat 9:4, Yok 2:24,25Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka,
Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3139:3 Yob 31:4Onoonyeza ddala ekkubo lyange n’okwebaka kwange,
Era omanyi amagenda gange gonna.
4139:4 Beb 4:13Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange,
Laba, ai Mukama, ggwe ky’otomanyira ddala.
5Onzingizizza mu maaso n’ennyuma,
Era ontaddeko omukono gwo.
6139:6 Yob 42:3, Bar 11:33Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema;
Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
7139:7 Yer 23:24, Yon 1:3Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo?
Oba naddukira wa amaaso go?
8139:8 Yob 26:6, Nge 15:11, Am 9:2Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy’oli:
Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy’oli.
9Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby’enkya,
Ne ntuula mu bifo eby’ennyanja ebiri ewala ennyo;
10139:10 Zab 23:3Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
N’omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.
11139:11 Yob 22:13,14Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako,
N’omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro;
12139:12 Yob 34:22, Dan 2:22Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe,
Naye ekiro kyaka ng’omusana:
Kubanga enzikiza n’omusana bifaanana w’oli.
13Kubanga ggwe olina omwoyo gwange:
Wambikkako mu lubuto lwa mmange.
14139:14 Yob 5:9Naakwebazanga;
kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo:
Emirimu gyo gya kitalo;
N’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.
15139:15 Yob 10:8-11Tewakisibwa mubiri gwange,
Bwe nnakolerwa mu kyama,
Bwe nnatondebwa n’amagezi amangi mu bya wansi eby’ensi.
16Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira,
Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.
Ebyabumbibwanga buli lunaku buli lunaku,
Bwe byali nga tebinnabaawo n’ekimu.
17139:17 Zab 92:5Era n’ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda!
Bwe bigattibwa awamu, nga bingi!
18139:18 Zab 40:5Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo:
Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19139:19 Zab 6:8, Is 11:4Tolirema kutta babi, ai Katonda:
Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.
20139:20 Kuv 20:7, Yud 15Kubanga bakwogerako bubi,
N’abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.
21139:21,22 Zab 26:5Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe?
Sinyiigira abo abakugolokokerako?
22Mbakyawa okukyawa okutuukiridde
Mbayita balabe bange.
23139:23 Zab 26:2, Yer 17:10Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange:
Onkeme, omanye ebirowoozo byange:
24Olabe ng’ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze,
Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.