
138
Zabbuli ya Dawudi.
1138:1 Zab 95:3; 111:1Nneebazanga n’omutima gwange gwonna:
Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza.
2138:2 Zab 5:7, Yob 42:3, Bar 11:33Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu,
Era nneebazanga erinnya lyo olw’ekisa kyo n’olw’amazima go:
Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3Ku lunaku lwe nnakaabirirako wampitaba,
N’oŋŋumya n’amaanyi mu mmeeme yange.
4138:4 Zab 102:15Bakabaka bonna ab’ensi balikwebaza, ai Mukama,
Kubanga bawulidde ebigambo eby’akamwa ko.
5Weewaawo, baliyimba ku makubo ga Mukama;
Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6138:6 Zab 113:5,6, Nge 3:34, Luk 1:48, Yak 4:6Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu,
naye n’alowooza abeetoowaza:
Naye ab’amalala abamanya ng’ayima wala.
7138:7 Zab 23:4; 71:20Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza;
Oligolola omukono gwo ku busungu bw’abalabe bange,
N’omukono gwo ogwa ddyo
gulindokola.
8138:8 1 Byom 16:34, Zab 57:2, Baf 1:6Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako:
Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna;
Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.