
137
1137:1 Ez 1:1, Dan 8:2Okumpi n’emigga egy’e Babulooni,
Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga:
Bwe twajjukira Sayuuni.
2Ku miti egyali wakati mu kyo
Ne tuwanikako ennanga zaffe.
3Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba,
N’abaatunyaga baatulagira okuseka,
Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.
4Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama
Mu nsi eteri yaffe?
5Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo.
6137:6 Yob 29:10, Ez 3:26Olulimi lwange lwegattenga n’ekibuno kyange,
Bwe ssiikujjukirenga;
Bwe ssaagalenga Yerusaalemi
Okusinga essanyu lyange ekkulu.
7137:7 Kung 4:21,22, Ez 35:2,15, Am 1:11,12, Ob 8-14Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu
Olunaku olw’e Yerusaalemi;
Abaayogera nti Kisuule, kisuule,
Era n’emisingi gyakyo.
8Ggwe omuwala ow’e Babulooni, agenda okuzikirizibwa;
Aliba n’omukisa oyo alikuwalana ggwe,
Nga bwe watukola ffe.
9Aliba n’omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka
Ku jjinja.