136
1136:1 Zab 106:1Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2136:2,3 Ma 10:17, Kub 17:14Mumwebaze Katonda wa bakatonda:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3Mumwebaze Mukama w’abaami:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4136:4 Zab 72:18Oyo akola eby’amagero ebikulu yekka:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5136:5 Lub 1:1, Nge 3:19, Yer 10:12Oyo eyakola eggulu n’amagezi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6136:6 Lub 1:6, Zab 24:2, Is 42:5Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7136:7 Lub 1:16Oyo eyakola ebyaka ebikulu:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8Enjuba okufuga emisana:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9Omwezi n’emmunyeenye okufuga ekiro:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
10136:10 Kuv 12:29, Zab 78:51Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
11N’aggyamu Isiraeri wakati mu bo:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
12N’engalo ez’amaanyi, n’omukono omugolole:
Kubanga okusasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
13136:13,14 Kuv 14:21,22, Zab 78:13Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
14N’ayisa Isiraeri wakati mu yo:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
15136:15 Kuv 14:27Naye n’asuulira Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu.
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
16136:16 Ma 8:15Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
17136:17-22 Zab 135:10-12Oyo eyakuba bakabaka abakulu:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
18N’atta bakabaka abaatiikirivu:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
19Sikoni kabaka w’Abamoli:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
20Ne Ogi kabaka w’e Basani:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
21N’agaba ensi yaabwe okuba obusika:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
22Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
23Eyatujjukira bwe twajeera:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
24136:24 Zab 107:2N’atuwonya eri abalabe baffe:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
25136:25 Zab 104:27Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
26136:26 Ezer 5:12, Nek 1:4Mumwebaze Katonda ow’omu ggulu: