
135
1135:1 Zab 104:35; 113:1Mumutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama;
Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama:
2135:2 Ma 10:8, Zab 92:13Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama,
Mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3135:3 Zab 100:5; 147:1Mumutendereze Mukama;
kubanga Mukama mulungi:
Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu.
4135:4 Kuv 19:5, Ma 7:6,7Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe,
Ne Isiraeri okuba ow’envuma ye yekka.
5135:5 Kuv 18:11, Zab 95:3Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu,
Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.
6135:6 Zab 115:3, Zab 106:1Buli ky’ayagadde Mukama akikoze,
Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by’obuziba byonna.
7135:7 Yob 38:22,25, Yer 10:13, Zek 10:1Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z’ensi;
Aleetera enjota enkuba;
Afulumya empewo mu mawanika ge.
8135:8 Kuv 12:29, Zab 78:51Eyakuba ababereberye ab’e Misiri,
Ab’abantu era n’ab’ensolo.
9135:9 Ma 6:22Yaweereza obubonero n’eby’amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri,
Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.
10135:10-12 Zab 136:17-22Eyakuba amawanga amangi,
N’atta bakabaka ab’amaanyi;
11135:11 Kubal 21:21-26,33-35, Yos 12:7-24Sikoni kabaka w’Abamoli,
Ne Ogi kabaka w’e Basani,
N’amatwale gonna aga Kanani:
12135:12 Yos 23:4,5N’agaba ensi yaabwe okuba obusika,
Obusika eri Isiraeri abantu be.
13135:13 Kuv 3:15, Zab 102:12Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna;
N’ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
14135:14 Ma 32:36, Zab 90:13Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be,
Era alyejjusa mu bigambo eby’abaddu be.
15135:15-18 Zab 115:4-8Ebifaananyi eby’amawanga ye ffeeza, ye zaabu,
Omulimu ogw’emikono gy’abantu.
16Birina obumwa, naye tebyogera;
Birina amaaso, naye tebiraba;
17Birina amatu, naye tebiwulira;
So tewali mukka mu bumwa bwabyo.
18Ababikola balibifaanana;
Weewaawo, buli abyesiga.
19135:19-20 Zab 115:9-11Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama:
Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama:
20Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama:
Mmwe abatya Mukama, mu mwebaze Mukama.
21135:21 Zab 132:14Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni,
Atuula mu Yerusaalemi.
Mumutendereze Mukama.